1 Chronicles 23

Abaleevi

1 aAwo Dawudi bwe yawangaala ennyo n’akaddiwa emyaka mingi n’afuula Sulemaani mutabani we okuba kabaka wa Isirayiri.

2Era yakuŋŋaanya abakulembeze ba Isirayiri bonna, wamu ne bakabona n’Abaleevi. 3 bAbaleevi abaali baweza emyaka amakumi asatu n’okusingawo baabalibwa, n’omuwendo gw’abasajja bonna gwali emitwalo esatu mu kanaana. 4 cAwo Dawudi n’agamba nti, “Ku abo emitwalo ebiri mu enkumi nnya be banaalabiriranga omulimu ogwa yeekaalu ya Mukama, ate kakaaga banaabanga bakungu n’abalamuzi. 5 dEnkumi nnya banaabanga baggazi, ate enkumi ennya abasigaddewo be banatenderezanga Mukama n’ebivuga bye nateekateeka ku lw’okutendereza.”

6 eAwo Dawudi n’agabanyamu Abaleevi mu bibinja ng’abaana ba Leevi bwe baali: Gerusoni, ne Kokasi ne Merali.

7Abaana ba Gerusoni baali
Ladani ne Simeeyi.
8Batabani ba Ladani baali
Yekyeri omukulu, ne Zesamu, ne Yoweeri, basatu bonna awamu.
9Batabani ba Simeeyi baali
Seromisi, ne Kasiyeri, ne Kalani, basatu bonna awamu,
era be baali abakulu b’ennyumba ya Ladani.
10Batabani ba Simeeyi omulala
Yakasi, ne Zina, ne Yewusi ne Beriya,
be bana bonna awamu.
11Yakasi ye yali omukulu, ne Ziza ye yali owookubiri, naye Yewusi be Beriya tebaalina baana noolwekyo baabalibwa ng’ekika kimu era nga bakola omulimu gwe gumu.

12 fBatabani ba Kokasi baali
Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni ne Wuziyeeri, be bana.
13 gBatabani ba Amulaamu baali
Alooni ne Musa.
Alooni yayawulibwa, ye n’abazzukulu be emirembe gyonna, atukuzenga ebintu ebitukuvu ennyo, okuwangayo ssaddaaka eri Mukama, n’okumuweerezanga, era n’okusabanga omukisa mu linnya lye emirembe gyonna.
14 hBatabani ba Musa omusajja wa Katonda babalibwa nga ba mu kika kya Leevi.
15 iBatabani ba Musa baali
Gerusomu ne Eryeza.
16 jMu bazzukulu ba Gerusomu,
Sebweri ye yali omukulu.
17Mu bazzukulu ba Eryeza,
Lekabiya ye yali omukulu.
Eryeza teyalina baana balala, naye batabani ba Lekabiya baali bangi ddala.
18Mu batabani ba Izukali,
Seromisi ye yali omukulu.
19 kMu batabani ba Kebbulooni,
Yeriya omukulu, Amaliya nga wakubiri, Yakaziyeri nga wakusatu, ne Yekameyamu nga ye wookuna.
20Mu batabani ba Wuziyeeri,
Mikka ye yali omukulu, ne Issiya nga ye wookubiri.

21 lBatabani ba Merali baali
Makuli ne Musi.
Batabani ba Makuli baali
Eriyazaali ne Kiisi.
22Eriyazaali n’afa nga tazadde baana babulenzi wabula aboobuwala bokka. Baganda baabwe, batabani ba Kiisi be babawassa.
23Batabani ba Musi baali
Makuli, Ederi ne Yeremosi be basatu.

24 mAbo be baali abazzukulu ba Leevi mu bika byabwe, ng’emitwe gy’ennyumba bwe gyali giwandiikibbwa mu mannya gaabwe, era nga bwe baabalibwa buli kinoomu, be bakozi abaalina emyaka amakumi abiri n’okusingawo abaaweerezanga mu yeekaalu ya Mukama. 25 nDawudi yali agambye nti, “Olw’okuba Mukama Katonda wa Isirayiri, awadde abantu be emirembe, era abeera mu Yerusaalemi emirembe gyonna, 26 oAbaleevi tekikyabagwaniranga kusitula eweema oba ebintu ebikozesebwa mu kuweereza.” 27Nga bagoberera ebigambo bya Dawudi ebyasembayo, Abaleevi abaabalibwa baali ba myaka amakumi abiri n’okusingawo.

28 pOmulimu gwabwe gwali gwa kuyambanga bazzukulu ba Alooni mu buweereza obwa yeekaalu ya Mukama, nga bavunaanyizibwa mu mpya ne mu bisenge, ne mu kutukuzanga ebintu byonna ebitukuvu, n’okukola emirimu emirala mu nnyumba ya Katonda. 29 qBaavunaanyizibwanga emigaati egy’okulaga ku mmeeza, n’obutta obulungi obw’ekiweebwayo eky’obutta, n’obugaati obutazimbulukusibbwa, n’okufumba, n’okutabula, olw’ebiweebwayo, n’ebigero byonna mu bungi bwabyo ne mu bunene bwabyo. 30 rBe baayimiriranga okwebazanga n’okutenderezanga Mukama buli nkya na buli akawungeezi, 31 sne mu kuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, ebyaweebwangayo ku ssabbiiti, n’emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga ezaateekebwawo. Kyabagwaniranga okuweerezanga mu maaso ga Mukama obutayosa, mu mpalo zaabwe, nga bwe balagibwa.

32 tAwo Abaleevi ne bakolanga emirimu gyabwe mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne mu Kifo Ekitukuvu, nga bayamba baganda baabwe bazzukulu ba Alooni, okuweerezanga okw’omu yeekaalu ya Mukama.

Copyright information for LugEEEE